JOSE
 Chameleone avudde mu mbeera olwa mutoowe Pallaso okumujeemera bwe 
yagaanyi okulabikako mu kivvulu mwe yamuyise okumutabaganya ne banne mu 
Goodlyfe.
Aweese Weasle ne Moze ku mugongo n’abeetolooza siteegi wakati mu kuyimba oluyimba olupya oluyitibwa “The Best I Know” wakati mu nduulu okuva mu bawagizi.
CHAMELEONE ATABUKIDDE PALLASO
Chameleone (Joseph Mayanja) owa Leone Island olwavudde e Bulaaya n’ategeka ekivvulu ku Venom mu Kampala n’ayita aba Goodlyfe okubatabaganya bakomye entalo ze balimu ezaabatuusizza okukubagana wiiki ewedde ne beetuusaako ebisago n’okukoona amadirisa g’ennyumba zaabwe eza Neverland e Makindye ekyavuddeko poliisi okubakwata n’ekuula n’enjaga gye yasanze munda mu kikomera kyabwe.
Okumanya eng’uumi eno yasonsomola Moze, enkeera yanyumizaako banne nti: Ndabye abakubi, naye Pallaso mukubi!
Oluvannyuma Pallaso yagambye nti wadde assa ekitiibwa mu mukuluwe Chameleone, alina Maneja Jeff Kiwanuka gw’alina okusooka okufunako olukusa nga tannaba kusisinkana bayimbi balala naddala ng’ekifo we baagala abasisinkane waliwo ekivvulu.
Moze alumiriza Jeff okwekobaana ne Pallaso, AK47, Allan Kiwanuka ne bannaabwe okutemaatema mu Goodlyfe oluvannyuma lwa Moze ne Weasle okusalawo okuggyako Jeff obuvunaanyizibwa bwa Maneja ne babuwa Chagga (Geoffrey Kyagambiddwa).
Bagamba nti Jeff ali mu kuperereza Weasle yeekutule ku Moze, kyokka bino Jeff agamba nti babimusibako busibi.
Chameleone yakkakkanyizza Moze, Weasle ne Chagga n’abategeeza nti agenda kufuba okwogerako ne Pallaso ne Jeff abakakase nti beetaaga okutambulira awamu bave mu ntalo era n’alabula nti bwe banaaguguba waakubeesalako aleme kuddamu kukolagana nabo mu by’emiziki; wadde nga bonna bayise mu mikono gye.
Yagambye nti agenda kutandika kampeyini evumirira abayimbi abeerwanya akunge n’abantu obuteetaba mu bivvulu bye baba bategese okutuusa nga beetonze.
Chameleone y’omu ku baludde nga bawulirwa mu ntalo, kyokka yategeezezza nti bino abawagizi bibanyiiza nnyo era naye teyakoma ku kubivaamu wabula atandise n’okubivumirira.
Aweese Weasle ne Moze ku mugongo n’abeetolooza siteegi wakati mu kuyimba oluyimba olupya oluyitibwa “The Best I Know” wakati mu nduulu okuva mu bawagizi.
CHAMELEONE ATABUKIDDE PALLASO
Chameleone (Joseph Mayanja) owa Leone Island olwavudde e Bulaaya n’ategeka ekivvulu ku Venom mu Kampala n’ayita aba Goodlyfe okubatabaganya bakomye entalo ze balimu ezaabatuusizza okukubagana wiiki ewedde ne beetuusaako ebisago n’okukoona amadirisa g’ennyumba zaabwe eza Neverland e Makindye ekyavuddeko poliisi okubakwata n’ekuula n’enjaga gye yasanze munda mu kikomera kyabwe.

Chameleone ng’ali ne ba Moze (ku ddyo) ne Weasle (owookubiri ku kkono). Asooka ku kkono ye Bobi Wine.
Mu Goodlyfe mulimu baganda ba 
Chameleone basatu okuli Weasle (Douglas Sseguya), Pallaso (Pius Mayanja 
eyeeyitanga Lizard nga tannagenda ku kyeyo) ne AK47 (Emmanuel Mayanja) 
abali mu kagugulano ne bannaabwe mu kibiina ekyabatuusizza n’okugunjaawo
 akabinja k’abayimbi akapya ke baatuumye “Team No Sleep” (ekitegeeza 
Ttiimu eteebaka tulo).
Chameleone ng’aweese Moze.
Chameleone yatuuse ku Venom ku 
ssaawa 7:00 ez’ekiro n’asooka okuwayaamu ne bayimbi banne okwabadde 
BobiWine ne mukazi we Babie era mu kaseera katono Moze (Moses Ssekibogo)
 owa Goodlyfe n’amuloopera Pallaso nti yamukuba eng’uumi ku mimwa era ne
 yeewaana. Okumanya eng’uumi eno yasonsomola Moze, enkeera yanyumizaako banne nti: Ndabye abakubi, naye Pallaso mukubi!

Weasle ne Chameleone nga bayimba.
Chameleone yabadde yayise enjuyi 
zonna  ezirina enkaayana mu Goodlyfe kyokka Pallaso n’atajja; era Moze 
olwamaze  okwanja ensonga, Chameleone yazzeemu okumukubira ku ssimu 
essaawa eyo  wabula nga tazikwata ekyanyiizizza Chameleone n’agamba nti 
kano akalaba  ng’akabonero k’obunyoomi kyokka n’asuubiza okumugolola 
ettumba.Oluvannyuma Pallaso yagambye nti wadde assa ekitiibwa mu mukuluwe Chameleone, alina Maneja Jeff Kiwanuka gw’alina okusooka okufunako olukusa nga tannaba kusisinkana bayimbi balala naddala ng’ekifo we baagala abasisinkane waliwo ekivvulu.
Moze alumiriza Jeff okwekobaana ne Pallaso, AK47, Allan Kiwanuka ne bannaabwe okutemaatema mu Goodlyfe oluvannyuma lwa Moze ne Weasle okusalawo okuggyako Jeff obuvunaanyizibwa bwa Maneja ne babuwa Chagga (Geoffrey Kyagambiddwa).
Bagamba nti Jeff ali mu kuperereza Weasle yeekutule ku Moze, kyokka bino Jeff agamba nti babimusibako busibi.
Chameleone yakkakkanyizza Moze, Weasle ne Chagga n’abategeeza nti agenda kufuba okwogerako ne Pallaso ne Jeff abakakase nti beetaaga okutambulira awamu bave mu ntalo era n’alabula nti bwe banaaguguba waakubeesalako aleme kuddamu kukolagana nabo mu by’emiziki; wadde nga bonna bayise mu mikono gye.
Yagambye nti agenda kutandika kampeyini evumirira abayimbi abeerwanya akunge n’abantu obuteetaba mu bivvulu bye baba bategese okutuusa nga beetonze.
Chameleone y’omu ku baludde nga bawulirwa mu ntalo, kyokka yategeezezza nti bino abawagizi bibanyiiza nnyo era naye teyakoma ku kubivaamu wabula atandise n’okubivumirira.

Abamu ku badigize abeetabye mu kivvulu.
No comments:
Post a Comment
Liked this post
Place your comment here