Pages

Saturday, June 7, 2014

Ssenga akubye muwalawe lwa kumwagalira bba

Obuggya bukutte Ssenga nalumba muwala we e Iganga n’amukubirayo era namuwambako engoye n’ebintu ebirala ng’amulanga okumukolako ejoogo n’amwagalira bba.
Yudaya Namatovu omutuuze we Kazinga e Kiwatule yeyalumbye muwala we Rehema Nalubega e Iganga n’amukuba saako n’okutwala ebimu ku bintu bye ng’agamba ayingiridde amakage n’amubbako omusajja we eyategerekeseeko erya Kalema.
Kino kyaretedde Nalubega okuddukira ku poliisi e Iganga naggulawo omusango oguli ku fayiro SD 22/5/06/2014 oluvanyuma najja e Kampala natwala abasirikale ewa Senga we Namatovu ne baaza ennyumba ya ssengawe era eno poliisi gyeyasanze ebintu bya Namtovu.
Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi e Kiwatule Robinah Birungi yagambye nti Nalubega yabatuukiridde nabategeeza nga Senga we bwe yamulumbye e Iganga wakolera namukubirayo namuwambako’ engoyeze, ssente enkalu obukadde 15 ssaako n’esimu ye ey’omungalo ng’ayambibwako abasajja babiri.
“Twabadde tulyawo Nalubega najja ng’asindikiddwa poliisi ya CPS ng’ayagala okununula ebintu bye Ssenga we Namatovu byeyabadde amututteko era naffe kwekusalawo okugenda mu maka ga Namatovu e Kazinga n’etwaza ennyumba” Birungi owokupoliisi ye Najeera bwe yagambye.
Yaayongeddeko nti mu kwaza ennyumba ya Namatovu engoye, engatto, ne ssente enkalu akakadde kamu mw’emitwalo kyenda (1,900,000/-) ebya Nalubega byasangiddwamu wabula yo essimu n’essente endala tebyalabise.
Wabula Namatovu yagambye nti ekyamulumbisiza muwala we Nalubega lwakuba nti yayingirira obufumbo bwe nga wano wewavudde obusungu okugendayo.
“Mwana muwala oyo nze mulabiridde n’emusomesa naye nasalawo nayingirira amaka gange?! Nange wano wenafunidde obusungu ne mulumba n’emujjako ebintu bye namugulira” Namatovu bwe yagambye.
Yagambye nti ekyasinze okumutabula kwekukeberanga ku ssimu ya bba nasangako ebifanaanyi Nalubega byabadde awerezza bba Kalema nga bali bombi ekiraga nti abadde amusomooza n’okulaga nti omusajja yamweddizza.
Birungi yategezezza nti Namatovu yatwaliddwa ne mmotoka ye e Iganga Nalubega gyeyagudde omusango.

No comments:

Post a Comment

Liked this post
Place your comment here