Sunday, June 1, 2014

Bad Black attacked by disease that King of Pop Micheal Jackson suffered from


 
Bwe wekkaanya ebintu Shanita Namuyimbwa amanyiddwa nga Bad Black by’akola okukyusa endabika ye, tolema kulowooza nti yalwala bulwadde bw’omugenzi omuyimbi Michael Jackson. 
Obulwadde buno bwa bwongo bwe bayita 'Dysmorphic disorder' oli ng’atawaanyizibwa endowooza nti si mulungi kimala olwo n’afuba okwekyusa endabika ye ate ne bwe baba bamukyusizza era wayita ekiseera kitono n’addamu n’alaba nga si mulungi ne bamukyusa bw’atyo okutuusa endowooza eno bw’emuleetera n’endwadde endala eziyinza okumutuusa ku kufa.
Bad Black okufaanana ne Michael Jackson yasookereza mpola nti kaakyuse amabeere ge gagejje, teyakoma awo nti n’akabina keetaaga okukyusa, olwakamala nti n’ennyindo. Leero bw’omutunuulira kumpi buli kimu agenze akikyusa.
Olugendo lw’okwekyusa luno yalutandika mu  2010 nga yatandikira  ku kya kupika mabeere.
Bad Black bwe yali nga tebannamukyusa. Ku ddyo, Bad Black nga bwe yalabise ku Lwokuna oluvannyuma lw’okumukyusa okukyasembyeyo.
Ku Lwokuna bwe baabadde mu kkooti y’ebyobusuubuzi, muganzi wa Black, Omuzungu David Greenhalgh yawuniikirizza kkooti bwe yategeezezza nga Black bwe yakozesa ssente eziri mu bukadde 200 e Dubai okugezza amabeere kyokka nga zino yali azisabye agende bamujjanjabe kkansa gwe yali agamba nti amuluma.
Omugenzi Micheal Jackson bwe yali nga tebannamukyusa. Ku ddyo nga bamukyusizza.
Ng’asinziira emitala w’amayanja gye yali addukidde omwaka oguwedde, yategeeza nga bwe yali akooye okubeera Omuddugavu ng’ayagala kufuuka Muzungu era Black mu kumukomyawo endabika ye yawuunikiriza bangi naddala abaali bamulabyeko mu buto nga Muddugavu kakongoliro nga mweru ali ku lugendo lwe olw’okufuuka Omuzungu.
Ku kweyerusa n’okugezza amabeere Black yagattako okumulongoosa ennyindo eyali endeeruufu kati katono kalinga ka balaalo n’ategeeza nti ennyindo n’okweyerusa byamumalako  doola 25,000 era amangu ddala nga yaakadda okuva e Rwanda gye baamukwatira yategeeza nga bwe yali ateekateeka okugenda bamulongoose amakudde n’akabina ng’ayagala geefaanaanyirizeeko ag’omuyimbi Nicki Minaj era n’awera nti olumala ekibonerezo kye mu kkomera ateekwa okugenda babigezze.
Okumanya Black yalwala obutaba  mumativu na ndabika ye, olumu ayita mu nnyambala n’okwetonaatona mu ffeesi okwekyusa ssaako okweyubula nga omusota.
Wadde nga bino byonna abikola era nga waliyo n’abantu abalala abandyagadde okukola ky’ekimu. Okukyusa ekitundu ku mubiri kiyinza okuviirako akabi.
Nga tannafa Michael Jackson yatawaanyizibwanga ebirwadde abamu bye baagambanga nti biva ku ngeri gye yakyusanga endabika ye.
Ne Bad Black mu December wa 2012 yawalirizibwa okusasula akakalu ka bukadde 100 kkooti ejulirwamu esobole okumuyimbula agende bamulongoose amabeere agaali gamufuukidde ekizibu mu kkomera.
Mu kweyerusa agamba nti bamuwa obukereda bw’ateekeddwa okumira singa kino takikola ayinza okufuna obuzibu ku lususu. Kyokka jjukira nti Michael Jackson eddagala eryamuweebwanga mu ngeri y’emu yalitamiira bwenge n’atuuka n’okwewanga doozi esukkiridde ekyavaako okufa kwe.
CREDIT:  BUKEDDE

No comments: