Saturday, August 9, 2014

David Lutalo yeevuma gwe yaggya mu kyalo amusigulidde omukazi


KINO nakola kya ki  kale ekindeetera okwejjusa… nandikulese mu kyalo … mukwano gwa nnabaki guno oguntutteko  ebyange maama ..? Nandikulese mu kyalo… Bino by’ebigambo David Lutalo bye yakozesezza mu luyimba lwe olupya  lwe yayise Nandikulese mu kyalo.
Lutalo mu kukwata vidiyo  y’oluyimba  luno yalaze ng’asanze mukyala we  n’omusajja gwe yayamba okuggya mu kyalo nga bano yabasanze mu maka ge   nga basinda omukwano.
Mu vidiyo eno tulaba Lutalo ng’anona mukwano gwe okuva mu kyalo  gye yamusanga ng’ akuba bbulooka. Amutuusa ku kibuga e Kampala n’amusenza ewuwe nga kw’atadde nokumugulira engoye  mu ngeri y’okumulabirira ng’ali ne munne ddala.  Agamba nti omusajja  gye yakoma  okumweyabiza  ng’amubuulira byonna ebibye gy’akomye okumulivvula.
Omukazi Lutalo gwe yaggya mu kyalo ng'atiguka n'omusajja
“Abantu mubayambe  naye muteekewo ekkomo kubanga omusajja oba omukazi gw’oyambye asobola  bulungi nnyo okukwata mu liiso sibagaanye kuyamba bantu bammwe,” Lutalo bw’annyonnyola oluyimba.
Yasabye n’abo abayambibwa  nabo okumanya we balina okukoma  nti omuntu okukuyamba kibeera kisa kya Mukama.

No comments: