Thursday, January 8, 2015

Owa P.7 atanneetuuka akwasizza omugagga Katumwa


POLIISI y'e Katwe ekutte n'eggalira omusuubuzi w’omu Kampala, David Katumwa nga kigambi yasenzesenze omuwala wa P.7 atanneetuuka n'amutwala mu loogi n'amukozesa.
Katumwa nannyini dduuka eritunda ebikozesebwa mu mizannyo erya Katumwa Sports Center erisangibwa kuBen Kiwanuka Street mu Kampala poliisi yamuggye mu makaage e Makindye mu Kizungu zooni n'emutwala ku loogi e Zzana gy'agambibwa okuyingiza omuwala (amannya gasirikiddwa) ow'emyaka 16 n'amukozesa!
Akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi e Katwe, Emmanuel  Ayebare yagambye nti Katumwa okukwatibwa kyaddiridde omukazi, Prossy Nanozi, ng’ono waaluganda n’omuwala okugenda ku poliisi ku Lwokubiri January, 7 n'amuggulako omusango n'ekyaddiridde poliisi kumulondoola gy'asula n'akwatibwa.
“Twafunye okwemulugunya okuva omu ku booluganda lw’omuwala ng'agamba nti omusuubuzi Katumwa yamusobya ku muwala waabwe oluvanyuma lwokumutwala mu loogi e Zana. Omuwala agamba nti kino yakikola ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde nga 2, January 2015,” Ayebare bwe yagambye.
Yagambye nti poliisi yaggye Katumwa mu makaage n'emutwala ku loogi ya Silda Guest House ewa Zzana w'agambibwa okuyingiza omuwala ne yeegatta naye oluvannyuma n'amuwa 20,000/- .
Ayebare yayongeddeko nti mu poliisi ebakaganye n'okukola okunoonyera okuzuula oba omuwala bye yayogedde bituufu n’okuzuula ekituufu ekyaliwo.
Wabula Katumwa yegaanyi ebimwogerwako n'agamba nti abaamuwabidde baagala kumuggyako ssente nga bamuyingako emisango egitategeerekeka.
Yagambye nti abooluganda lw’omuwala baasooka kumusaba amuwerere n'agaana n’ebintu ebirala nga gati basazeewo kumuyungako emisango gy'atategeera n’ekigendererwa ky’okumwonoonera erinnya.
Katumwa yagguddwaako omusango oguli ku fayiro SD 45/07/01/2015 n'ggalirwa ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

No comments: